BEBE COOL ANUNUA HUMMER
BEBE Cool bwe yeeyita ‘omunene’ abeera talimbye. Ayingizzaawo mmotoka ensajja ey’ekika kya Hummer H2 model 2003. Mmotoka eno egula obukadde 100 yatuuse ku Lwokubiri era yatuukidde mu kibanda kya Tadash e Nakawa. Bebe Cool yagambye nti mmotoka eno mw’ajja n’okugendera mu Mbuutu y’Embuutikizi eneebaawo nga March 7 mu kisaawe e Namboole.
Hummer ya Bebe Cool tennagendako nnamba naye ayagala kugiteekako nnamba ya bwannannyini ‘Big Size’, alage nti ye munene aliwo.
Ebirala ku mmotoka eno tujja kubikuleetera.
No comments:
Post a Comment